Luke 12:35-38

35 “Mube beetegefu olw’obuweereza, era mukuume ettabaaza zammwe nga zaaka. 36Mube ng’abasajja abalindirira mukama waabwe; bw’akomawo okuva mu mbaga y’obugole, n’akonkona banguwa okumuggulirawo oluggi. 37 aBalina omukisa abaddu abo, mukama waabwe baalisanga nga batunula. Ddala ddala mbagamba nti, agenda kwambala atuuze abaddu abo ku mmeeza abagabule. 38Balina omukisa abo, bw’alijja mu kisisimuka ekyokusatu, baalisanga nga batunula.

Copyright information for LugEEEE